Abasawo, Abaami n'abaweereza ba Kabaka, n'abakulembeze ku mitendera egy'enjawulo, basitudde okwolekera ekizinga Bubeke gye bagenze okutuusa obujjanjjabi obw'obwereere
Essaza Gomba limalirizza okwegezaamu okusembayo mu kisaawe e Wankulukuku webanattunkira ne Kyaggwe ku Lwomukaaga nga 31.Tossubwa!
Ssentebe wa district y'e Mpigi Peter Kawuki akunze bannankobazambogo okugula emigabo mu Essuubiryo Zambogo SACCO bagaziye ku nfuna yaabwe.
Nga 7 November Essuubiryo Zambogo Sacco lwe yateekawo olw'okugula emigabo mu kikungo eri buli ayagala okusiga ensimbi ne zikola amagoba.
#cbs
Okujaguza emyaka 60 egy'essaza lya Kampala Archdiocese. Katikkiro Charles Peter Mayiga n'Omukyala, batuuse mu Lutikko e Lubaga okwetaba mu kitambiro ky'emmisa ekikulembeddwa Ssaabasumba w'Essaza lino, Paul Ssemogerere.
Omulangira Dr. Joseph Katerega Muteesa n'omuzaana Joanitah Nakyanzi bakubye ebilayiro by’obufumbo obutukuvu mu Kkanisa Lutikko e Namirembe.
Omulangira Dr. Joseph Katerega Muteesa n'omuzaana Joanitah Nakyanzi bakubye ebilayiro by’obufumbo obutukuvu mu Kkanisa Lutikko e Namirembe.
Omumyuka asooka owa Katikkiro Owek. Prof Twaha Kigongo Kaawaase, era munna Gomba akoowodde abantu ba Kabaka okujja mu bungi e Wankulukuku nga 31 omwezi guno beerabireko nga Gomba emegga Kyaggwe
BugandaUK retweeted
Ekiriwo kati
Omukubiriza w’Olukiiko lwa Buganda, Oweek Patrick Luwaga Mugumbule ne Minisita w’Olukiiko, Kabineeti n'ensonga ez'enjawulo mu Woofiisi ya Katikkiro, Oweek Noah Kiyimba, batuuse mu Ssaza Buweekula, gyebagenze okusisinkana olukiiko lwa Luweekula, n'Abaami ba Kabaka ku mitendera egy’enjawulo okubabangula ku nkubiriza y'enkiiko z'obwakabaka entuufu.
Abakiise mu lukiiko lwa Buganda okuli; Oweek Harriet Nampala Kiwanuka, ne Oweek Kasajja Gyaviira, weebali mu lukungaana luno olutudde ku mbuga y'e Ssaza.
Enteekateeka emaze emyaka 2 nga etambuzibwa mu Masaza.
BugandaUK retweeted
Situla Omutindo:
Ssi Kyabugunjufu okumansa kasasiro buli wosanze. Ebifo Kasasiro w’olina okumuteeka webiri. Leka ffenna tweyagalire mu bifo ebiyonjo nga tukendeeza ku kumansa kasasiro.
Minisita wa Kabaka eyawummula Owek Ssewava Serubiri ayozaayozezza Captn. Herbert Mulasa Musiitwa olw’okutuuka ku mazaalibwa ge ag’emyaka 70 namwebaza olw’okuweereza Kabaka we awataali kasiimo Captn Musiitwa yali omu ku b’ebyokwerinda mu Lubiri.@cbsfm_ug


















