Minisita Noah Kiyimba akubirizza abasomesa mu okusiga obuntubulamu mu baana basobole okuvaamu abantu ab'omulamwa. Akubirizza n'abayizi okubeera abawulize okusobola okuwangula mu bulamu bw'ensi eno. Asinzidde ku ssomero Backbay School erisangibwa e Kitukutwe, Kira mu Kyaddondo.
Owek. Kiyimba asanyukidde endabika y'essomero lino ne yebaza abatandisi baalyo olw'okubeera mu buufu bw'Obwakabaka obwa
#SitulaOmutindo ne basiga ensimbi mu byenjigiriza mu mbeera ey'omutindo.
Omukulembeze w’essomero lino Mw. Kalyango Godfrey Nickson agamba nti ayagala essomero lino lizimbe abayizi abatambulira ku mazima mu buli mbeera yonna mu bulamu awo nno babere besigwa.